Luke 1:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale laba, Elizabeti muganda wo ali lubuto lwa mwana mulenzi, sso nga mukadde; era guno gwe mwezi ogwomukaaga ogw'oyo gwe baayitanga omugumba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, Erisabesi muganda wo, era naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe, guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, Erisabesi muganda wo, era ye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe; guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba.