Luke 1:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'akoowoola n'eddoboozi ddene nti: “Oli wa mukisa mu bakazi, n'omwana w'olubuto lwo wa mukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti, “Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa.