Luke 1:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wamma wa mukisa oyo eyakkiririzaawo nti ebyamugambibwa okuva ew'Omukama birituukirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga ebyo bye wagambibwa Mukama, birituukirizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama.