Luke 1:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yatunuulira obutene bw'omuzaana we. Laba, n'okuva kati amazadde gonna ganampitanga wa mukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga alabye obuwombeefu bw’omuweereza we. Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga alabye obunaku bw'omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero abantu ab'emirembe gyonna banaampitanga aweereddwa omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga akwatiddwa ekisa omuzaana we ataliiko bw'ali. Okuva kati, abantu ab'emirembe gyonna banampitanga wa mukisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga alabye obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, laba, okusooka leero ab’emirembe gyonna banampitanga aweeredawa omukisa.