Luke 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mirembe gya Erode kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zakariya, ow'omu kisanja kya Abiya, mukazi we erinnya lye nga ye Elizabeti, nga wa mu bawala ba Aroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi.