Luke 1:59 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku olwomunaana ne bajja okutayirira omwana. Baali ba kumuyita erinnya lya kitaawe Zakariya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; era baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya.