Luke 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga tebaliiko kibavunaanibwa, nga batambulira mu biragiro by'Omukama byonna ne mu mateeka ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi.