Luke 1:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakolera kitaawe obubonero nga bamubuuza bw'ayagala bamuyite.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawenya ku kitaawe, bw'ayagala okumutuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawenya kitaawe, bw'ayagala okumutuuma.