Luke 1:66 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaabiwulira, ne babirowoozalowooza mu mitima gyabwe nga bagamba nti: “Omwana ono aliba atya?” kubanga omukono gwa Katonda gwamuliko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti, “ Kale omwana oyo aliba ki?” Kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti Kale omwana oyo aliba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye.