Luke 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Zakariya bwe yali ng'akola omulimu gw'obwakabona mu maaso ga Katonda, mu kisanja kye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Zaakaliya bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwakabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana,