Luke 1:80 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana n'agenda ng'asuumuka, nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu ddungu okutuusa olunaku lwe yeeyoleka Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n'abeeranga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo; n'abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri.