Luke 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'empisa ey'obwakabona bwe yali, akalulu ne kagwa ku ye, n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama okunyookeza obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu Yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane.