Luke 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Omukama n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma kinnababirye bamukulembere mu byalo byonna ne mu buli bifo gye yali agenda okutuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri, n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu (70) n'abatuma kinnababirye okumukulemberamu okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu mu babiri, n'abatuma babiri babiri okumukulemberamu mu buli kibuga ne mu buli kifo ye yennyini gye yali anaatera okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waffe n'alonda abalala nsanvu, n'abatuma kinnababirye mu maaso ge okugenda mu buli kibuga na buli kifo gy'agenda okujja ye.