Luke 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zikusanze, ggwe Korazini! Zikusanze, ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byali bibadde mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya nga batudde mu vvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida! kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oli wa kubonaabona ggwe Koraziini! Ennaku za kukulaba ggwe Betusayida! Ebyamagero ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, abantu baayo bandibadde baayambala dda ebikutiya, ne beesiiga n'evvu, okulaga nti beenenyezza. Zek 9:2-4
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zikusanze, Kolaziini! zikusanze, Besusayida kubanga, eby'amaanyi ebyakolerwa ewammwe singa byakolerwa e Ttuulo n'e Sidoni, singa beenenya dda nga batudde mu bibukutu n'evvu.