Luke 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyufu, nga bagamba nti: “Mukama, emyoyo emibi gituwulira mu linnya lyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abo ensanvu (70) ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti, “ Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa ensanvu mu ababiri ne bakomawo nga basanyuka, ne bagamba nti: “Mukama waffe, n'emyoyo emibi gyatuwuliranga nga tukozesezza erinnya lyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo ensanvu ne bakomawo n'essanyu nga bagamba nti Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.