Luke 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani ng'awanuka mu ggulu ng'enjota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Nnalaba Setaani ng'agwa ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Nalaba Sitaani bw'agwa, ng'ali ng'okumyansa okuva mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Nnalaba Setaani ng'avudde mu ggulu okugwa ng'okumyansa.