Luke 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabye, nabawa obuyinza obw'okulinnyirira emisota, n'enjaba, ne ku maanyi gonna ag'omulabe; tewali kintu na kimu kiribakolera bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez'obusagwa, era mbawadde okuwangula amaanyi gonna ag'omulabe. Tewali kintu na kimu kiribakolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mbawadde obuyinza obw'okulinnyanga ku misota n'enjaba ez'obusagwa, n'amaanyi gonna ag'omulabe: so tewali kintu ekinaabakolanga obubi n'akatono