Luke 10:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kaseera ako, n'ajaguliza mu Mwoyo Mutuukirivu, n'agamba nti: “Taata, Omukama w'eggulu n'ensi, nkutendereza, kubanga ebyo wabikisa abagezi n'abategeevu n'obibikkulira abato. Weewaawo, Taata, bw'otyo bwe wasiima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu ssaawa eyo Yesu n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti, “ Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakalakalaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo kyennyini, Mwoyo Mutuukirivu n'ajjuza Yesu essanyu, Yesu n'agamba nti: “Nkutendereza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abategeera, n'obimanyisa abaana abato. Weewaawo Kitange, kubanga bw'otyo bwe wayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu ssaawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abato: weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go.