Luke 10:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana, wabula Taata, ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana, n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kitange byonna yabimpa. Ate nze Mwana tewali ammanyi okuggyako Kitange. Era tewali amanyi Kitange okuggyako nze Mwana, n'oyo gwe mba njagadde amanye Kitange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Byonna byampeebwa Kitange; tewali muntu amanyi Omwana bw'ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.