Luke 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'akebukira abayigirizwa be n'abagamba bo bokka nti: “Amaaso agalaba mmwe bye mulaba galina omukisa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti, “ Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu bwe yasigala n'abayigirizwa be bokka, n'abakyukira n'agamba nti: “Muli ba mukisa okulaba bino bye mulaba!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akyukira abayigirizwa be n'abagamba kyama nti Galina omukisa amaaso agalaba bye mulaba: