Luke 10:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka mbabuulire, abalanzi bangi ne bakabaka bangi beegomba okulaba mmwe bye mulaba ne batabiraba; okuwulira mmwe bye muwulira ne batabiwulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbagamba nti abalanzi bangi ne bakabaka beegomba okulaba bye mulaba, ne batabiraba. n'okuwulira bye muwulira, ne batabiwulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mbagamba nti Bannabbi bangi ne bakabaka baayagalanga okulaba bye mulaba mmwe, ne batabiraba; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.