Luke 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omuyigiriza w'amateeka omu n'asituka okumukema, n'agamba nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, Omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema n'agamba Yesu nti, “ Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'asituka, n'agamba Yesu, ng'amukema, nti: “Muyigiriza, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, omuyigiriza w'amateeka n'ayimirira ng'amukema ng'agamba nti Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?