Luke 10:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli n'ayanukula nti: “Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'emmeeme yo yonna; ne munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu n'agamba nti, “ Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna. Era yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'agamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna, n'amagezi go gonna; ne muliraanwa wo nga ggwe bwe weeyagala wekka.