Luke 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli olw'okwagala okulaga nti yalina ensonga, n'agamba Yezu nti: “Munnange oyo ye ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti, “ Muliraanwa wange ye ani? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omunnyonnyozi w'amateeka olw'okwagala okulaga nti ky'abuuzizza kisaanidde, n'agamba Yesu nti: “Muntu munnange oyo, ye ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye obutayagala kuwangulukuka, n'agamba Yesu nti Muliraanwa wange ye ani?