Luke 10:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu butanwa ne wabaawo kabona naye eyali aserengeta mu kkubo eryo; n'amulaba, kyokka n'ayita buyisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona yali ng'aserengetera mu kkubo eryo nga tagenderedde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo kabona, era naye eyaserengeta mu kkubo eryo, n'amulaba, n'amwebalama, n'ayitawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona yali ng'aserengetera inu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n'amwebalama n'ayitawo.