Luke 10:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agenda w'ali n'amusiba ebiwundu ng'amaze okubifukamu omuzigo n'evviini, n'amussa ku nsolo ye, n'amutwala mu nnyumba y'abatambuze, n'amujjanjaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'amaze okubifukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi n'amujjanjaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu, ng'amaze okubifukamu omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu, n'amussa ku nsolo ye eyeebagalwa, n'amutwala mu nnyumba y'abagenyi, n'amujjanjaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amussa ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abagenyi, n'amujjanjaba.