Luke 10:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwaddako, n'atoola dinaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe; ate kyonna ky'oliba osussizzaako, nze ndikikusasula amadda.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo bwe ndikomawo ndikusasula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, n'aggyayo denaari bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba, n'amugamba nti: ‘Mujjanjabe. Ssente zonna z'olikozesa nga zisukka ku zino, ndizikusasula amadda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe bwakya enkya n'atoola eddinaali bbiri, n'aziwa nnannyini nnyumba n'amugamba nti Mujjanjabe; n'ekintu kyonna ky'oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula.
Recommended Reading