Luke 10:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: “Oli eyamukwatirwa ekisa.” Yezu n'agamba nti: “Genda naawe okolenga bw'otyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.” Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “ Oli eyamukolera eby'ekisa.” Yesu n'amugamba nti, “Naawe genda okole bw'otyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omunnyonnyozi w'amateeka n'addamu nti: “Oyo eyamukwatirwa ekisa.” Awo Yesu n'amugamba nti: “Naawe genda okolenga bw'otyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti oli eyamukolera eby'ekisa. Yesu n'amugamba nti Naawe genda okole bw'otyo.