Luke 10:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bwe baali batambula, n'ayingira mu kyalo ekimu; omukazi, gwe bayita Marita, n'amwaniriza mu nnyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baali mu lugendo lwabwe, Yesu n'atuuka mu kyalo ekimu. Omukazi erinnya lye Marita n'amukyaza mu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali bagenda, n'ayingira mu kyalo: omukazi erinnya lye Maliza n'amusembeza mu nnyumba ye.