Luke 10:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali alina muganda we, nga bamuyita Mariya, oyo yatuula kumpi n'ebigere by'Omukama ng'awulira ekigambo kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awulirizanga ekigambo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Marita yalina muganda we ayitibwa Mariya. Mariya oyo n'atuula kumpi n'ebigere bya Mukama waffe, ng'awuliriza ekigambo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yalina muganda we ayitibwa Malyamu, eyatuulanga awali ebigere bya Mukama waffe n'awuliranga ekigambo kye.