Luke 10:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Marita yali yeetawula mu mirimo mingi egy'okuweereza; n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Mukama, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Muŋŋambireko annyambe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Maliza yabanga n'emitawaana mingi egy'okuweereza; awo n'ajja w'ali, n'amugamba nti, “ Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambe annyambe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Marita yali atawuka mu mirimu mingi, ng'aweereza. Marita n'agenda awali Yesu n'agamba nti: “Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? Kale mugambeko annyambe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Maliza yabanga n'emitawaana egy'okuweereza okungi; n'ajja w'ali, n'amugamba nti Mukama wange, tofaayo nga muganda wange andese okuweereza nzekka? kale mugambe annyambe.