Luke 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubeeranga mu nyumba eyo nga mulya era nga munywa ku bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temugezanga kuva mu nnyumba emu kudda mu ndala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnyumba eyo, mwe mubanga musula. Mulyenga era munywenga bye babawa, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temukyusanga kisulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubeerenga mu nnyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu okuyingira mu ndala.