Luke 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali mu kifo ekimu nga yeegayirira, bwe yamala, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama, tuyigirize okwegayirira nga Yowanna bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ali mu kifo ekimu ng'asaba, bwe yamala okusaba, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “ Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Yesu yali mu kifo ekimu ng'asinza Katonda. Bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusinza Katonda, nga Yowanne bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamala, ku bayigirizwa be omu n'amugamba nti Mukama waffe, tuyigirize okusaba, era nga Yokaana bwe yayigirizanga abayigirizwa be.