Luke 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale oba mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, alabisa Taata ali mu ggulu; talisinzaawo okuwa Mwoyo Mutuukirivu ababa bamusabye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abo abamusaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa Mwoyo Mutuukirivu abamumusaba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.