Luke 11:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo yali agoba omwoyo omubi era nga gukasiru, omwoyo omubi bwe gwamala okumuvaamu, kasiru n'ayogera, abantu ne beewuunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yali agoba ku muntu omwoyo omubi era gukasiru. Awo omuntu oyo kasiru, omwoyo omubi bwe gwamuvaako, n'atandika okwogera. Abantu ne beewuunya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali ng'agoba dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuvaako, kasiru n'ayogera, ebibiina ne byewuunya.