Luke 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abamu ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ku lwa Beelizebuli omukulu w'emyoyo emibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni ng'akozesa obuyinza bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abamu ku bo ne bagamba nti: “Emyoyo emibi agigoba ng'akozesa buyinza bwa Beeluzebuli omukulu waagyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abamu ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.