Luke 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu, buzikirira; n'ennyumba egwa ku ginnaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti, “ Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Abantu ab'obwakabaka obumu bwe beesalamu ne balwanagana, obwakabaka obwo buzikirira. Era ne bwe gaba maka, gasasika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa.