Luke 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, oba Sitaani yeetemyemu bw'atyo, obwakabaka bwe bunaanywera butya! Kubanga mmwe mugambye nti emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obwakabaka bwe bunaasigalawo butya? Mmwe mugamba nti ngoba emyoyo emibi ku bantu, nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli.