Luke 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale oba nze emyoyo emibi ngigoba ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bo bagigoba ku bw'ani?” Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Bwe batyo kye baliva baba abalamuzi bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oba nga nze ngoba emyoyo emibi nga nkozesa buyinza bwa Beeluzebuli, abagoberezi bammwe bo bagigoba nga bakozesa buyinza bw'ani? Kyebaliva babasalira mmwe omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kyebaliva baba abalamuzi bammwe.