Luke 11:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye amusinga amaanyi bw'amulumba, n'amala amugoba, ebyokulwanyisa byonna bye yali yeesiga abimuggyako n'eby'omunyago n'abigereka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, amunyagako eby'okulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka amusinga amaanyi bw'amulumba n'amuwangula, atwala ebyokulwanyisa bye by'abadde yeesiga, n'ebintu bye ebinyage n'abigaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye amusinga amaanyi bw'amujjira n'amuwangula, amunyagako ebyokulwanyisa bye byonna bye yeesiga, n'agaba ebintu bye.