Luke 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gubulwa, ne gugamba nti: ‘Nzija kudda mu nnyumba yange mwe nava.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Kanzireyo mu nnyumba yange mwe nnava.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwoyo omubi bwe guva ku muntu, guyitaayita mu bifo ebitaliimu mazzi, nga gunoonya we gunaawummulira. Bwe gutazuulawo, gugamba nti: ‘Nja kudda mu nnyumba yange mwe nava.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dayimooni bw'ava ku muntu, ayita mu bifo ebitaliimu mazzi ng'anoonya aw'okuwummulira; bw'abulwa agamba nti Ka nzireyo mu nnyumba yange mwe nnava.