Luke 11:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne gugenda, ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne gugenda ne guleeta emirala musanvu egigusinga obubi, ne giyingira ne gibeera omwo. Embeera y'omuntu oyo ey'oluvannyuma, n'eba mbi okusinga eyasooka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale agenda, n'aleeta badayimooni abalala musanvu, ababi okumusinga ye, ne bayingira ne babeera omwo: kale eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo bibeera bibi okusinga eby'olubereberye.