Luke 11:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali akyayogera ebyo, omukazi omu n'ayima mu kibiina n'akangula eddoboozi, n'agamba nti: “Olubuto olwakuzaala lwa mukisa, ko n'amabeere ge wayonka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti, “ Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Yesu bwe yali akyayogera ebyo, omukazi eyali mu kibiina ky'abantu, n'ayimusa eddoboozi n'amugamba nti: “Olubuto mwe wakulira lwa mukisa, n'amabeere agaakuyonsa ga mukisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ng'ayogera ebyo, omukazi ow'omu kibiina n'ayimusa eddoboozi lye n'amugamba nti Lulina omukisa olubuto olwakuzaala n'amabeere ge wayonkako.