Luke 11:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibiina bwe byali byeyongera obunene, n'atandika okugamba nti: “Ezzadde lino zzadde bbi; lisaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti, “ Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, naye tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu, abantu bangi bwe baakuŋŋaanira w'ali, n'atandika okugamba nti: “Abantu b'omulembe guno bantu babi! Basaba akabonero, naye tewali kabonero kajja kubaweebwa okuggyako akabonero ka Yona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ebibiina bwe byali nga bikuŋŋaanira w'ali, n'atanula okugamba nti Emirembe gino mirembe mibi: ginoonya akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona.