Luke 11:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'e Nineve, ku kulamulibwa balisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino ne babasalira omusango okubasinga, kubanga bo Yona bwe yababuulira, baabonerera; sso nga wano waliwo asinga Yona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Nineeve balisituka ng'abantu b'omulembe guno basalirwa omusango, ne babalumiriza omusango okubasinga, kubanga bo beenenya nga Yona abategeezezza ekigambo kya Katonda, naye laba asinga Yona ali wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'emirembe gino, baligisinza omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wano.