Luke 11:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tewali akoleeza ttawaaza n'agissa buziizi, oba n'agivuunikirako kibbo; wabula agiwanika ku kikondo kyayo, abayingira balyoke balabe ekitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tewali akoleeza ttaala n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu takoleeza ttaala n'agikweka mu kinnya oba mu kibbo, wabula agiteeka ku kikondo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali akoleeza ttabaaza n'agissa mu bunnya, oba munda w'ekibbo, wabula ku kikondo, abayingira balabe bw'eyaka.