Luke 11:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eriiso lyo y'ettawaaza y'omubiri gwo; eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gutangaala; naye bwe liba eddwadde, era n'omubiri gwo guba mu nzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde ekitangaala; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ettaala y'omubiri gwo lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu. Naye bwe litaba ddamu, omubiri gwo gujjula ekizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettabaaza y'omubiri gwo lye liiso lyo; eriiso lyo bwe liraba obulungi, n'omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana; naye bwe liba ebbi, n'omubiri gwo nga gujjudde ekizikiza.