Luke 11:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga omubiri gwo gwonna gutangaala, nga tewali kitundu na kimu kiri mu nzikiza, gwonna gulitangaala ne gukutangaaza ng'ettawaaza bw'ekutangaaza n'okwaka kwayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula ekitangaala, nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula ekitangaala ng'ettaala bw'ekumulisiza n'ekitangaala kyayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale singa omubiri gwo gwonna gujjula obutangaavu, era nga tegulina kitundu na kimu kya kizikiza, gulitangaalira ddala, ng'ettaala bw'ekumulisa n'ekitangaala kyayo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omubiri gwo gwonna bwe gujjula omusana, nga tegulina kitundu kimu kya kizikiza, gwonna gulijjula musana ng'ettabaaza bw'ekumulisiza n'okutangaala kwayo.