Luke 11:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyayogera, Omufarisaayo n'amusaba okulya ewuwe. N'ayingira n'atuula okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yali ng'akyayogera, Omufalisaayo n'amuyita ewuwe okulya emmere: Yesu n'ayingira n'atuula ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamaliriza okwogera ebyo, Omufarisaayo n'amusaba okulya naye ekyemisana. Awo Yesu n'ayingira n'atuula okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'ayogera, Omufalisaayo n'amuyita okulya emmere ewuwe: n'ayingira n'atuula ku mmere.