Luke 11:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omufarisaayo n'atandika okwewuunya okulaba nga teyamala kunaaba ng'agenda okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omufalisaayo ne yeewuunya bwe yalaba Yesu nga tasoose kunaaba nga tannalya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufarisaayo ne yeewuunya okulaba nga Yesu tasoose kunaaba nga tannalya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omufalisaayo bwe yalaba, ne yeewuunya kubanga tasoose kunaaba nga tannalya.